2 Chronicles 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulimu gwonna Solomoni gwe yali akola ku Kiggwa ky'Omukama bwe gwamalirizibwa, n'ayingiza ebintu bya kitaawe Dawudi: ffeeza, zaabu n'eby'okuwoomesa, n'abissa mu nkuluze y'Ekiggwa kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Sulemaani n’amaliriza omulimu gwonna ogwa yeekaalu ya Mukama. N’alyoka aleeta ebintu kitaawe Dawudi bye yawonga, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna ebyole, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Sulemaani n'amaliriza omulimu gwonna ogw'okuzimba ennyumba ya Mukama. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga: effeeza ne zaabu, n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Solomooni n'amaliriza omulimu gwonna ogw'okuzimba Essinzizo, n'alyoka aleeta ebintu byonna, Dawudi kitaawe bye yawongera Mukama: ffeeza ne zaabu, n'ebikozesebwa byonna, n'abiteeka mu ggwanika ly'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe gutyo omulimu gwonna Sulemaani gwe yakola olw'ennyumba ya Mukama ne guggwaawo. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga; effeeza ne zaabu n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Katonda.