2 Chronicles 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Ssanduuku temwalimu kirala wabula ebipande ebibiri eby'amayinja Musa bye yateeramu ku Korebu, Omukama gye yakolera endagaano n'Abayisirayeli bwe baali baakava mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Essanduuko yalimu ebipande Musa bye yateekamu nga ali ku Kolebu, Mukama gye yakolera endagaano n’Abayisirayiri, bwe baali bavudde mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu Ssanduuko temwali kintu kirala wabula ebipande ebibiri, Musa bye yateeka omwo bwe yali ku lusozi Kolebu, Mukama gye yalagaanira endagaano n'abaana ba Isiraeri, nga bavudde mu Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Ssanduuko ey'Endagaano temwali kintu kirala, wabula ebipande by'amayinja ebibiri, Musa bye yateekeramu ku lusozi Sinaayi, Mukama bwe yakola endagaano n'Abayisirayeli, nga bavudde mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temwali kintu mu ssanduuko wabula ebipande byombi Musa bye yateeka omwo ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, we baava mu Misiri.