2 Chronicles 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona ne bafuluma Ekifo Ekitukuvu, Bakabona bonna abaalimu baali beetukuzizza, nga tebafudde na ku bibinja byabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakabona bonna ne bava mu Kifo Ekitukuvu. Bonna abaaliwo baali beetukuzizza, obutayawula mu bibiina byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona bonna, awatali kufa ku mpalo zaabwe, baali beetukuzizza, ne bava mu kifo Ekitukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona bonna baali beetukuzizza. Awo olwatuuka, bonna ne bavaayo, awatali kufa ku mpalo zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bakabona bwe baamala okuva mu kifo ekitukuvu, (kubanga bakabona bonna abaali eyo baali beetukuzizza, so tebaakwata mpalo zaabwe;