2 Chronicles 5:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna wamu, ab'amakondeere n'abayimbi ne basaakaanyiza wamu, mu ddoboozi limu, okutendereza n'okwebaza Omukama. Nga bawerekerwako amakondeere, ensaazo na buli kivuga kyonna ne basitulira wamu amaloboozi okutendereza Omukama nga bayimba nti: “Mulungi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.” Ekire ne kijjula Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaafuuwanga amakondeere n’abayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi ery’awamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba n’ebitaasa, n’ebivuga ebirala nga bayimba nti, “Mulungi, kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.” Awo yeekaalu ya Mukama n’ejjula ekire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ab'ebivuga n'abayimbi ne bakwanya wamu amaloboozi, nga batendereza, nga beebaza Mukama. Ne basaakaanyiza wamu amaloboozi gaabwe n'amakondeere n'ebitaasa n'ebintu ebivuga, ne batendereza Mukama, nga bagamba nti, “Mukama mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.” Awo ennyumba ya Mukama n'ejjula ekire,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abayimbi n'ab'ebivuga ne bakwanya wamu amaloboozi, nga batendereza era nga beebaza Mukama. Ne basaakaanyiza wamu amaloboozi gaabwe n'ag'amakondeere n'ebitaasa n'ebivuga ebirala nga bagamba nti: “Mutendereze Mukama, kubanga mulungi. Ekisa kye kya mirembe gyonna!” Awo Essinzizo ne lijjula ekire,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olwatuuka abaafuuwa n'abayimbi nga bafaanana omu, okuwuliza eddoboozi erimu nga batendereza nga beebaza Mukama, era bwe baayimusa eddoboozi lyabwe n'amakondeere n'ebitaasa n'ebintu ebivuga, ne batendereza Mukama, nga boogera nti Kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: awo ennyumba n'eryoka ejjula ekire, ennyumba ya Mukama,