2 Chronicles 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Solomoni n'atumya abakadde bonna mu Yisirayeli bajje gy'ali mu Yeruzaalemu, n'abakulu b'ebika bonna, n'abakulu b'ennyumba z'Abayisirayeli eza bajjajjaabwe, baggye Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama mu Siyoni, kwe kugamba nti mu Kibuga kya Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sulemaani n’akuŋŋaanya abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika, n’abakulu b’ennyumba za bajjajja b’abantu ba Isirayiri bagende baleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama okuva mu Sayuuni, ekibuga kya Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani n'akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri, n'abakulu b'ebika bonna, n'abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abaana ba Isiraeri, bagende e Yerusaalemi, ba ggyeyo essanduuko ey'endagaano ya Mukama okuva mu kibuga kya Dawudi Sayuuni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Solomooni n'ayita abakulembeze b'omu Yisirayeli: abakulu b'ebika bonna, n'abakulu b'ennyumba okujja e Yerusaalemu, bagende baggye Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Siyooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'alyoka akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyonna egy'ebika, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri, e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu kibuga kya Dawudi, ye Sayuuni.