2 Chronicles 5:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye kabaka Solomoni n'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli abaali bakuŋŋaanidde w'ali, baali naye mu maaso g'Essanduuku nga batambira endiga n'ente; tezaabalibwa kubanga zaayitirira obungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Sulemaani n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, abaali bakuŋŋaanye nga bamwetoolodde, nga bali mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez’endiga n’ente, ezitaabalibwa muwendo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna enkya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali ne babeera mu maaso g'essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez'endiga n'ente, nnyingi nnyo ezitaabalibwa muwendo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Solomooni n'Abayisirayeli bonna abaali bakuŋŋaanidde w'ali ne babeera mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, ne batambira ente n'endiga nnyingi nnyo, ezitayinza na kubalika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali ne baba mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente, ezitagattika newakubadde okubalika obungi.