2 Chronicles 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona ne bayingiza Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama mu kifo kyayo mu Kisenge eky'Omunda eky'omu Kiggwa, Awatukuvu Ennyo, ne bagissa wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakabona ne baleeta essanduuko ey’endagaano ya Mukama munda mu kifo kyayo mu watukuvu wa yeekaalu, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, munda mu nnyumba, mu kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabona ne baleeta mu Ssinzizo Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, ne bagiteeka mu kifo kyayo, munda mu Ssinzizo, mu Kifo Ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, awayimibwa okwogera mu nnyumba, mu kifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwawaatiro bya bakerubi.