2 Chronicles 5:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emisituliro gyali miwanvu, nga gisobola okulabika ebweru okuva ku Ssanduuku, naye nga tegirabika ng'oyimye ebweru w'Ekifo Ekitukuvu. Gikyaliyo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era emisituliro gyali miwanvu nnyo nga n’okulengerebwa girengerebwa okuva mu watukuvu, naye nga tegirabika ng’omuntu asinzidde ebweru; era ekyali eyo ne leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emisituliro gyayo gyali miwanvu ng'omuntu ayimiridde munda mu Yeekaalu mu maaso g'ekifo Ekitukuvu Ennyo asobola okulaba emisa gyazo, naye ng'ali ebweru tagiraba. Ekyali eyo ne leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emiti egyo gyali miwanvu, ng'omuntu ayimiridde mu Ssinzizo, mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo asobola okulaba entwe zaagyo, naye ng'ali ebweru, taziraba. Emiti egyo gikyaliyo n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'emisituliro gyali miwanvu bwe gityo emisa gy'emisituliro n'okulaba n'agiraba ayima awali essanduuko mu maaso g'awayimibwa okwogera; naye n'atagiraba ayima ebweru: era ekyali eyo ne leero.