2 Chronicles 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama akakasizza kye yayogera. Nasikira kitange Dawudi era kati ntudde ku nnamulondo ya Yisirayeli ng'Omukama bwe yayogera, nzimbidde n'erinnya ly'Omukama, Katonda wa Yisirayeli ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano, Mukama atuukirizza kye yasuubiza. Nsikidde Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama atuukirizza ekigambo kye, kye yayogera, kubanga nze nsikidde kitange Dawudi, era ntudde ku ntebe y'obwakabaka bwa Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kaakano Mukama atuukirizza ekigambo kye, kye yayogera, kubanga nsikidde kitange Dawudi, ne ntuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli, nga Mukama bwe yasuubiza. Era nzimbidde Mukama Katonda wa Yisirayeli Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama atuukirizza ekigambo kye kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katcnda wa Isiraeri ennyumba.