2 Chronicles 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Solomoni n'ayimirira mu maaso g'omwaliiro gw'Omukama mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli, n'agololera emikono gye waggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Mukama mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani n'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama, ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kiri awo, n'agolola emikono gye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Solomooni n'ayimirira mu maaso ga alutaari ya Mukama, ng'Abayisirayeli bonna bali awo, n'agolola emikono gye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama, ekibiina kyonna ekya Isiraeri nga weebali n'ayanjuluza engalo ze: