2 Chronicles 6:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni yali akoze ekituuti eky'ekikomo nga kya buwanvu bwa mikono etaano, obugazi bwa mikono etaano n'obusimba bwa mikono etaano, ng'akisimbye mu makkati g'oluggya olw'ebweru. Yalinnya ku kituuti n'afukamira mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli n'agololera emikono gye waggulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali akoze ekituuti eky’ekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu n’obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, n’obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ng’akitadde wakati mu luggya olw’ebweru era kye yali ayimiriddeko. N’afukamira mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye eri eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Sulemaani yali akoze ekituuti eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu, ng'akitadde wakati mu luggya. N'alinnya waggulu ku kituuti ekyo, n'afukamira mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri, n'ayanjuluza engalo ze eri eggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali akoze ekituuti eky'ekikomo, kya mita bbiri n'obutundu bubiri obuwanvu era n'obugazi, ne mita emu n'obutundu busatu obugulumivu, ng'akitadde wakati mu luggya. N'alinnya waggulu ku kituuti ekyo, n'afukamira mu maaso g'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, n'agolola emikono gye eri eggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(kubanga Sulemaani yali akoze ekituuti eky'ebikomo, obuwanvu bwakyo emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu, n'akiteeka wakati mu luggya; n'ayimirira okwo, n'afukamira ku maviivi ge mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri, n'ayanjuluza engalo ze eri eggulu:)