2 Chronicles 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, mu ggulu ne ku nsi teri Katonda akufaanana, ggwe akuumira endagaano n'ekisa kyo abaweereza bo abatambula mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri tewali Katonda akufaanana mu ggulu newaakubadde ku nsi, atuukiriza endagaano ye ey’okwagala eri abaddu be abatambulira mu maaso ge n’emitima gyabwe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, tewali Katonda akufaanana, mu ggulu newakubadde mu nsi; atuukiriza endagaano ye era akwatirwa ekisa abaddu bo abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, mu ggulu ne mu nsi tewali Katonda mulala ali nga ggwe. Kubanga ggwe okuuma endagaano gy'okola n'abantu bo, era obakwatirwa ekisa, bwe bakunywererako n'omutima gwabwe gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, tewali Katonda akufaanana, mu ggulu newakubadde mu nsi; akwata endagaano n'okusaasira eri abaddu bo abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna: