2 Chronicles 6:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wakuuma bye wagamba omuweereza wo kitange Dawudi; wabisuubiza n'akamwa ko, n'obituukiriza n'emikono gyo olwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Otuukirizza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kubanga wasuubiza n’akamwa ko, era okituukirizza n’omukono gwo leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Otuukiriza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kye wayogera n'akamwa ko, era okituukirizza olwaleero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wakuuma kye wasuubiza omuweereza wo kitange Dawudi. Ggwe wakimusuubiza wennyini, era olwaleero okituukirizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyanyweza eri omuddu wo Dawudi kitange ekyo kye wamusuubiza: weewaawo, wayogera n'akamwa ko, era okituukirizza n'omukono gwo, nga bwe luri leero.