2 Chronicles 6:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, kuumira omuweereza wo kitange Dawudi bye wamusuubiza bwe wagamba nti: ‘Tolibulwa musajja alituula ku nnamulondo ya Yisirayeli mu maaso gange, singa abaana bo baneegenderezanga mu makubo gaabwe ne batambuliranga mu etteeka lyange nga ggwe bw'okoze.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tuukiriza ebyo bye wasuubiza Dawudi kitange bwe wayogera nti, ‘Tolirema kufuna musika mu maaso gange kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, ab’ezzadde lyo bwe baneegenderezanga okutambuliranga mu maaso gange ng’etteeka lyange bwe liri, nga ggwe bw’otambulidde mu maaso gange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, nyweza ekyo kye wasuubiza omuddu, Dawudi kitange, bwe wamugamba nti, ‘tewaabulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri, abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, ne batambuliranga mu mateeka gange nga ggwe bwo gatambuliddemu mu maaso gange.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, kuuma kye wasuubiza omuweereza wo kitange, bwe wamugamba nti ab'ezzadde lye bwe balibeera abawulize, era ne bakunywererako nga ye bwe yakola, taabulwenga mu bo batuula ku ntebe ya bwakabaka bwa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, ai Mukama Katonda wa Isiraeri, nyweza eri omuddu wo Dawudi kitange ekyo kye wamusuubiza ng'oyogera nti Tewaakubulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kyokka abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu mateeka gange nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange.