2 Chronicles 6:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ddala Katonda anaasula ku nsi n'abantu? Oba kale eggulu na liri eggulu erisukkulumidde ddala tebikumala kugyamu, leero alabisa ekiggwa kino kye nzimbye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ddala Katonda alituula n’abantu ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu erisinga okuba erya waggulu toligyamu, kale ate olwo yeekaalu gye nzimbye gy’oyinza okugyamu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mazima ddala, Katonda oyinza okutuula n'abantu mu nsi? Laba, eggulu erya waggulu toligyamu; kale ennyumba eno gye nzimbye oyinza otya ggwe okugiggyamu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye ddala, ayi Katonda, oyinza okubeera n'abantu bo ku nsi? N'eggulu lyennyini olifundamu n'otogyamu. Kale onoogya otya mu Ssinzizo lino lye nzimbye?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Katonda alituula mazima ddala n'abantu ku ttaka? laba, eggulu n'eggulu erya waggulu toligyamu; kale ennyumba eno gye nzimbye eyinza etya ggwe okugigyamu?