2 Chronicles 6:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka tunuulira essaala y'omuweereza wo n'okuwanjaga kwe, ayi Mukama Katonda wange. Wulira omulanga n'essaala y'omuweereza wo by'aweerezza nga yeegayirira mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wuliriza okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange, owulire okusaba kw’omuddu wo kwasaba gy’oli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ayi Mukama Katonda wange, wulira okusaba kw'omuddu wo n'okwegayirira kwe, kw'asaba mu maaso go:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula ndi muweereza wo, ayi Mukama Katonda wange. Wulira okwegayirira kwange, era ompe bye nkusaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye lowooza okusaba kw'omuddu wo n'okwegayirira kwe, ai Mukama Katonda wange, okuwulira okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabye mu maaso go: