2 Chronicles 6:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wulira okuwanjaga kw'omuweereza wo n'abantu bo Yisirayeli bwe beegayirira mu kifo kino. Wulira, ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula, ng'owulidde, saasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wulira kaakano okwegayirira kw’omuddu wo n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banaabanga basaba nga batunuulidde ekifo kino; owulirenga okuva mu kifo eyo gy’obeera, era bw’owuliranga, osonyiwenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era owuliranga okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino: wuliranga ggwe ng'osinzira ggulu, mu kifo kyo ky'obeeramu; era bw'onoowuliranga, osonyiwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era owulirenga bye nkusaba nze omuweereza wo, era n'abantu bo Abayisirayeli bye banaakusabanga, nga batunuulidde ekifo kino. Ddala otuwulire era otusaasire ng'osinziira mu ggulu eyo gy'obeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era owuliranga okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino: weewaawo, wuliranga ggwe ng'oyima mu kifo kyo ky'obeeramu, ng'oyima mu ggulu; era bw'onoowuliranga, osonyiwanga.