2 Chronicles 6:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omuntu bw'alisobya eri munne, n'aba ng'alina okulayira, n'ajja n'alayira mu maaso g'omwaliiro gwo mu Kiggwa kino,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu bw’anaayonoonanga ku muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, era n’ajja n’alayira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'anaasobyanga ku munne, ne kimugwanira okulayira okukakasa oba nga talina musango, n'ajja n'alayira ng'ayima mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bwe banaamulumirizanga nti yazza omusango ku munne, ne baagala okumulayiza okukakasa oba nga talina musango, n'ajja n'alayirira wano mu maaso ga alutaari yo mu Ssinzizo lino,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'anaayonoonanga munne, ne bamulayiza ekirayiro ky'aba alayira, n'ajja n'alayira ng'ayima mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno: