2 Chronicles 6:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'oyima mu ggulu owuliranga, n'obaako ky'okola. Olamulanga wakati w'abaweereza bo n'osingisa omubi omusango, n'omuwa ekibonerezo olw'ensobi ye; n'ossa ekisobyo kye ku mutwe gwe; omutuukirivu n'omwejjeerezza, n'aweerwa okusinziira ku butuukirivu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
owulirenga okuva mu ggulu, obeeko ky’okola. Osalenga omusango wakati w’abaddu bo osasulenga gwe gusinze, ng’ebikolwa bye bwe bimusaanira. Oyatulenga atalina musango, era omusasulenga ng’obutuukirivu bwe, bwe bunaabanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, n'olamula abaddu bo, n'obonereza asobeza, ne wejjeereza atalina musango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mu ggulu eyo gy'oli owuliranga, n'olamula abaweereza bo, n'obonereza omusobya, ne wejjeereza atalina musango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, okolanga, osaliranga abaddu bo omusango, ng'osasula ababi, okumuleetako ekkubo lye; era ng'oweesa obutuukirivu omutuukirivu, okumuwa ng'obutuukirivu bwe bwe buli.