2 Chronicles 6:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bo Yisirayeli bwe bagobebwanga abalabe baabwe kubanga baakola ekibi gy'oli, bamala badda gy'oli, ne beetondera erinnya lyo, ne basaba n'okuwanjaga mu maso go mu Kiggwa kino,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu bo Isirayiri bwe banaabanga bawanguddwa omulabe olw’obutali butuukirivu bwabwe, naye ne bakyuka ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu yeekaalu eno,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bo Isiraeri bwe banaawangulwanga abalabe baabwe, kubanga bakwonoonye naye ne bakyuka nate ne beenenya, ne basaba ne beegayirira mu maaso go mu nnyumba eno:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bo Abayisirayeli bwe banaawangulwanga abalabe baabwe olw'okukunyiiza, naye ne badda gy'oli ne bakwenenyeza, ne basaba nga beegayirira mu maaso go mu Ssinzizo lino,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abantu bo Isiraeri bwe banaakubibwanga wansi mu maaso g'abalabe, kubanga bakwonoonye; ne bakyuka nate ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu nnyumba eno: