2 Chronicles 6:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'oyima mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ebibi by'abaweereza bo n'eby'abantu bo Yisirayeli. Oboolekanga ekkubo eddungi mwe baba batambulira; otonnyesanga enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo ng'obusika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri, obayigirize ekkubo eggolokofu, lye bateekwa okutambulirangamu, era obaweereze enkuba ku nsi gye wawa abantu bo, obusika bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga ekibi ky'abaddu bo, abantu bo Isiraeri, n'obayigiriza ekkubo eggolokofu lye bateekwa okutambulirangamu, olwo n'otonnyesa enkuba ku nsi yo, gye wawa abantu bo okuba obusika bwabwe emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
eyo gy'oli mu ggulu owuliranga n'osonyiwa ebibi by'abaweereza bo, era abantu bo Abayisirayeli, n'obayigiriza okukolanga ebituufu; olwo n'otonnyesa enkuba ku nsi yo eno, gye wawa abantu bo okuba eyaabwe emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga ekibi ky'abaddu bo n'abantu bo Isiraeri, bw'onoobayigirizanga ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; oweerezanga enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika.