2 Chronicles 6:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Enjala bw'egwanga mu nsi, oba kawumpuli, oba nnabbambula, oba ebimera okugengewala, oba enzige, oba amayanzi, oba omulabe waabwe n'abazingiza mu kimu ku bibuga byabwe, oba ekibonoobono ekya buli ngeri, oba ekirwadde kyonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe wanaagwangawo enjala oba kawumpuli mu nsi, oba ne wabaawo okugengewala oba obukuku, oba enzige oba ebisaanyi, oba abalabe baabwe ne babazingiriza mu bibuga byabwe wadde ne bw’anaabanga kawumpuli ow’engeri etya, oba bulwadde bwa ngeri ki,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe wanaagwanga enjala mu nsi, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala, bukuku, enzige oba kawuka ku birime; abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu bibuga byabwe; bwe wanaabangawo endwadde yonna, oba okulumizibwa okw'engeri yonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu nsi bwe munaagwangamu enjala, oba bwe munaabangamu endwadde ya kawumpuli, oba ebirime bwe binaagengewalanga, oba ne bijjako obukuku oba ebisaanyi; oba abalabe bwe banaalumbanga abantu bo mu bibuga byabwe, oba bwe wanaabangawo endwadde yonna, oba okulumizibwa okwa buli ngeri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe wanaabanga mu nsi enjala, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala oba bukuku, enzige oba kawuka; abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu nsi ey'ebibuga byabwe; kawumpuli bw'anafaanananga atya, n'endwadde bw'eneefaanananga etya;