2 Chronicles 6:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne wabaawo essaala yonna oba okuwanjaga kwonna okuva mu omu ku bantu bo Yisirayeli, nga buli muntu ategedde obuyinike n'obulumi by'alimu, n'agololera emikono gye eri Ekiggwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne wabaawo okusaba oba okwegayirira okw’engeri zonna okukoleddwa omuntu yenna, oba abantu bo bonna Isirayiri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n’obuyinike bwe, era ng’ayanjulurizza engalo ze eri yeekaalu eno,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe wanaabangawo okusaba oba okwegayirira kwonna okunaakolwanga omuntu yenna, oba okw'abantu bo bonna Isiraeri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n'obuyinike bwe ye, n'ayanjuluza engalo ze ng'atunuulidde ennyumba eno:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abantu bo Abayisirayeli ne bakusaba era ne bakwegayirira buli omu ku lulwe, oba bonna awamu nga bakugololera emikono, gye boolekeza Essinzizo lino okusinziira ku bulumi ne ku buyinike bwe bawulira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyonna kyonna omuntu yenna ky'anaasabanga era kyonna ky'aneegayiriranga, oba abantu bo bonna Isiraeri, abanaamanyanga buli muntu endwadde ye n'obuyinike bwe ye, n'ayanjuluza engalo ze eri ennyumba eno: