2 Chronicles 6:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna ekya Yisirayeli bwe kyali kiyimiridde awo, Kabaka n'akyuka n'awa omukisa ekibiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’akyuka n’atunuulira ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekyali kiyimiridde awo, n’abasabira omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'akyuka n'atunuulira ekibiina kyonna ekya Isiraeri, ekyali kiyimiridde awo n'abasabira omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka n'akyuka, n'atunuulira ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, ekyali kiyimiridde awo, n'abasabira omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'akyusa amaaso ge, n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa: ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bayimirira.