2 Chronicles 6:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
owuliranga ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula. Osonyiwanga era buli omu n'omuyisa nga bwasaanidde, kubanga ggwe omanyi buli mutima - anti ggwe wekka ggwe omanyi emitima gy'abantu -
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera osonyiwe, era osasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka gw’omanyi emitima gy’abaana b’abantu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu n'osonyiwa, era n'osasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe, ggwe wekka omanyi emitima gy'abaana b'abantu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
eyo mu ggulu gy'obeera obawuliranga era obasonyiwanga. Buli omu omukoleranga ku bibye nga bw'asaanira, kubanga ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abantu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu, osonyiwanga osasulanga buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, gw'omanyiiko omutima gwe; (kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu;)