2 Chronicles 6:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Newandibadde omugwira, atali wa mu bantu bo Yisirayeli, avudde mu nsi ewala olw'okubeera erinnya lyo n'omukono gwo ogw'amaanyi n'omukono gwo omugolole, bw'abanga azze n'asabira mu Kiggwa kino
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era mu ngeri y’emu, bwe wanaabangawo munnaggwanga atali wa ku bantu bo Isirayiri, ng’ava mu nsi ey’ewala, olw’erinnya lyo ekkulu, n’olw’omukono gwo ogw’amaanyi, n’omukono gwo ogugoloddwa, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde eyeekaalu eno,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mu ngeri y'emu munnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala, ng'awulidde obukulu bwo, n'obuyinza bwo, n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'asaba nga atunuulidde ennyumba eno;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omugwira atabeera mu bantu bo Abayisirayeli, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala, ng'awulidde obukulu bwo, n'obuyinza bwo, n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'asinza ng'atunuulidde Essinzizo lino,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eby'omunnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala olw'erinnya lyo ekkulu n'engalo zo ez'amaanyi n'omukono gwo ogwagololwa; bwe banajjanga ne basaba nga batunuulira ennyumba eno;