2 Chronicles 6:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
owuliranga ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula, n'okola kyonna omugwira ky'akusaba, abantu bonna mu nsi balyoke bamanye erinnya lyo, bakutye ng'abantu bo Yisirayeli bwe bakola, bakakase nti ennyumba eno gye nzimbye eyitibwa linnya lyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera, okolere omunnaggwanga oyo kyonna ky’anaakusabanga; abantu bonna ab’omu nsi balyoke bamanye erinnya lyo era bakutye, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bategeere nti ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa Erinnya lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo n'okolera munnaggwanga oyo byonna byakusabye, olwo amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, era bakutye ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye ya kukusinzizangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
eyo mu ggulu gy'obeera owuliranga by'akusaba okumukolera, olwo abantu bonna mu nsi balyoke bakumanye era bakuwulire, ng'abantu bo Abayisirayeli bwe bakuwulira, era bamanye nti Essinzizo lino lye nzimbye lya kukusinzizangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by'akukaabira; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa erinnya lyo.