2 Chronicles 6:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bo bwe bagendanga okutabaala abalabe baabwe, yonna gy'oliba obatumye, bamala beegayirira nga bakoowoola eri ekibuga kye weerondera n'Ekiggwa kye nzimbidde erinnya lyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe, yonna gy’onoobasindikanga, ne basaba nga batunuulidde ekibuga kino ky’olonze ne yeekaalu gye nzimbidde Erinnya lyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bo bwe banaatabalanga abalabe baabwe yonna gy'onobasindikanga, ne bakusaba nga batunuulidde ekibuga kino kye weeroboza, n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bo bwe banaagendanga gy'onoobanga obatumye okulwanyisa abalabe baabwe, ne bakusinza nga batunuulidde ekibuga kino kye weeroboza, era nga batunuulidde Essinzizo lye nkuzimbidde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bo bwe banaatabalanga abalabe baabwe mu kkubo lyonna ly'onoobatumanga ne bakusabanga nga batunuulira ekibuga kino kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo: