2 Chronicles 6:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe babanga basobezza gy'oli - anti tewali muntu atayonoona - n'obasunguwalira, n'obawaayo eri omulabe waabwe, abaabawamba, ne babatwala mu busibe mu nsi ey'ewala oba okumpi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe banaakolanga ebisobyo, kubanga tewaliwo muntu atasobya, n’obasunguwalira, n’obawaayo eri omulabe, ne batwalibwa nga basibe mu nsi ey’ewala oba ey’okumpi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe banaakwonoonanga, kubanga tewali muntu atayonoona, n'obasunguwalira, n'oleka abalabe baabwe okubawangula n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi ey'ewala oba ey'okumpi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bo bwe banaakolanga ekibi ne bakunyiiza, nga bwe watali atakola kibi, n'obasunguwalira era n'oleka abalabe baabwe okubawangula ne babatwala mu nsi eri okumpi oba ewala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe banaakwonoonanga (kubanga tewali muntu atayonoonanga) n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi oba wala oba kumpi;