2 Chronicles 6:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bali eyo mu kifo gye basibiddwa, bamala beddamu muli mu mutima, ne beenenya ne bakuwanjagira eyo mu nsi gye baasibirwa nti: ‘Twayonoona, twasobya, twakola bubi,’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oluvannyuma ne beenenya mu mutima nga bali mu nsi gye bali abasibe, ne bakwegayiririra mu nsi ey’okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola eby’obubambavu, era twagira ekyejo,’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bwe beennyamiriranga mu mitima gyabwe mu nsi gye baatwalibwa nga basibe, ne bakyuka ne beenenya, ne bakwegayiririra mu nsi ey'okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona ne tukuvako ne tukola ebitasaana;’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye bwe baneerowoozanga nga bali eyo mu nsi gye batwaliddwa nga basibe, ne beenenya, ne bakwegayirira nga bagamba nti: ‘Twayonoona, twawaba, era twakola ebitasaana;’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe banajjuukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayirira mu nsi ey'okusibibwa kwabwe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo;