2 Chronicles 6:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula, owuliranga essaala zaabwe n'okuwanjaga kwabwe n'okola ku nsonga zaabwe. Osaasiranga abantu bo abaasobya gy'oli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale, owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, ekifo gy’obeera obaddiremu, era osonyiwe abantu bo abakwonoonye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu n'obaddiramu, n'osonyiwa bantu bo abakwonoonye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale owuliranga bye bakusaba. Eyo mu ggulu gy'obeera, owuliranga okwegayirira kwabwe, n'obalwanirira, era n'osonyiwa abantu bo abakoze ebibi ne bakunyiiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu owozanga ensonga yaabwe; osonyiwanga abantu bo abakwonoonye.