2 Chronicles 6:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Omukama, Katonda wa Yisirayeli agulumizibwe, atuukirizza n'emikono gye bye yasuubiza n'akamwa ke Dawudi kitange. Anti yagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa Isirayiri, atuukiriza n’omukono gwe ekyo kye yasuubiza n’akamwa ke eri Dawudi kitange, ng’agamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa Isiraeri, atuukiriza ekyo kye yasuubiza Dawudi kitange, bwe yamugamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Mwebaze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, atuukirizza kye yasuubiza kitange Dawudi, bwe yamugamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, eyayogera n'akamwa ke ne Dawudi kitange, era akituukirizza n'emikono gye, ng'ayogera nti