2 Chronicles 6:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama Katonda, togobaganya maaso ga musiige wo; jjukira omukwano gwa Dawudi omuweereza wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama Katonda, tokyusa maaso go okuva ku oyo gwe wafukako amafuta. Ojjukire ekisa kye walaga Dawudi omuddu wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama Katonda, tolekanga oyo gwe wafukako amafuta: jjukira okwagala kwo eri Dawudi omuddu wo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama Katonda, togoba oyo owuwo gwe wasiiga omuzigo. Jjukira okwagala kwe wayagalamu Dawudi, omuweereza wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama Katonda, tokyusanga maaso g'oyo gwe wafukako amafuta: jjukira okusaasirwa kwa Dawudi omuddu wo.