2 Chronicles 6:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Okuva lwe naggya abantu bange Yisirayeli mu Misiri, sirondanga kibuga mu bika byonna ebya Yisirayeli muzimbibwemu ekiggwa, erinnya lyange libeerenga omwo, era sirondanga muntu abeere omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Okuva ku lunaku lwe naggya abantu bange mu nsi y’e Misiri, tewali kibuga kye nnalonda mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimba mu eyeekaalu olw’erinnya lyange, wadde omuntu yenna okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘kasookedde nzigya bantu bange mu nsi y'e Misiri, sirondanga kibuga na kimu kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri, okuzimbira omwo ennyumba, nange mbeerenga omwo, so sirondanga muntu yenna okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Kasookedde nzigya bantu bange mu Misiri, sirondanga kibuga na kimu mu Yisirayeli, mwe bananzimbira Ssinzizo, era sirondanga muntu n'omu wa kukulemberanga bantu bange Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva ku lunaku lwe nnaggya abantu bange mu nsi y'e Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimbira omwo ennyumba, erinnya lyange libeere omwo; so seerobozanga muntu yenna okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri: