2 Chronicles 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye Omukama n'agamba kitange Dawudi nti: ‘Wayagala okuzimbira erinnya lyange ekiggwa, wakola bulungi okulowooza bw'otyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama n’agamba kitange Dawudi nti, ‘Newaakubadde nga kyali mu mutima gwo okuzimbira Erinnya lyange eyeekaalu, era wakola bulungi okuba nakyo mu mutima gwo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama yagamba Dawudi kitange nti, ‘Wakola bulungi okulowooza okunzimbira ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama n'amugamba nti: ‘Wakola bulungi okulowooza okunzimbira Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama yagamba Dawudi kitange nti Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange ennyumba, wakola bulungi kubanga kyali mu mutima gwo: