2 Chronicles 7:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni bwe yamala okwegayirira, omuliro ne guva mu ggulu, ne gusenkenya ebitambiro ebyokye n'ebitone, ekitiibwa ky'Omukama ne kijjuza Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sulemaani bwe yamaliriza esaala ye, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka era n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula eyeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani bwe yamala okusaba omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka; ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Solomooni bwe yamaliriza okusinza, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ebiweebwayo ebyokebwa, era n'ebitambiro. N'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani bwe yamala okwogera omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka; ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.