2 Chronicles 7:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu essatu olw'omwezi ogwomusanvu, n'asiibula abantu, ne bagenda buli omu mu maka ge nga basanyufu, emitima gijaganya, olw'ebirungi Omukama bye yali akoledde Dawudi, Solomoni ne Yisirayeli abantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu olw’omwezi ogw’omusanvu, Kabaka Sulemaani n’asindika abantu baddeyo ewaabwe, era ne bagenda nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw’obulungi bwa Mukama bwe yalaga Dawudi ne Sulemaani n’abantu be Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olw'abiri mu ssatu olw'omwezi ogw'omusanvu, Sulemaani n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe, nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi, ne Sulemaani, ne Isiraeri abantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddako, olw'amakumi abiri mu essatu olw'omwezi ogw'omusanvu, Solomooni n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe. Baddayo ewaabwe nga basanyufu era nga bamativu mu mitima olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi ne Solomooni, n'abantu be Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'amakumi abiri mu ssatu olw'omwezi ogw'omusanvu n'asindika abantu mu weema zaabwe, nga basanyuse era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi, ne Sulemaani, ne Isiraeri abantu be.