2 Chronicles 7:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni bwe yamaliriza okuzimba Ekiggwa ky'Omukama n'olubiri lwa kabaka, nga buli kimu kye yali ayagadde okukola ku Kiggwa ky'Omukama ne ku lubiri lwe kimulamidde,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sulemaani bwe yamaliriza eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, era ng’amalirizza n’ebyo byonna bye yali ateeseteese mu mutima gwe okukola mu yeekaalu ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka, era ng'amaliriza okuteekamu byonna bye yali ateeseteese mu mutima gwe okuteeka mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Solomooni bwe yamala okuzimba Essinzizo n'olubiri, era n'amaliriza bulungi okuteekamu byonna bye yalowooza okuteeka mu Ssinzizo, n'okuteeka mu lubiri lwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Sulemaani bwe yamala ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka: ne byonna ebyayingira mu mutima gwa Sulemaani okukola mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ye n'abituusa bulungi.