2 Chronicles 7:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'alabikira Solomoni ekiro, n'amugamba nti: “Mpulidde essaala yo era neerondedde ekifo kino kibeere ennyumba y'ebitambiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’amulabikira mu kiro n’amugamba nti, “Mpulidde okusaba kwo, era neerobozza gye ndi ekifo kino okuba eyeekaalu ey’okuweerangamu ssaddaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'alabikira Sulemaani kiro n'amugamba nti, “Mpulidde okusaba kwo era nzikiriza ekifo kino okuba ennyumba yange ey'okumpeerangamu ssaddaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amulabikira ekiro. N'amugamba nti: “Mpulidde by'onsabye, era nzikirizza Essinzizo lino libe ekifo omunampeerwanga ebitambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'alabikira Sulemaani kiro n'amugamba nti Mpulidde okusaba kwo ne nneeroboza gye ndi ekifo kino okuba ennyumba ey'okuweerangamu ssaddaaka.