2 Chronicles 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ndiggalanga eggulu enkuba n'etetonnya, oba ne mpa ekiragiro enzige ne zirya ensi, oba ne nsindika kawumpuli mu bantu bange,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe nnaggalangawo eggulu enkuba n’etatonnya, oba ne ndagira enzige okulya ensi oba ne nsindikira abantu bange kawumpuli,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nnaggalangawo eggulu waleme okuba enkuba, oba bwe nnaalagiranga enzige okulya ensi, oba bwe nnaaweerezanga kawumpuli mu bantu bange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nnaasibanga eggulu enkuba n'etetonnya, oba bwe nnaasindikanga enzige okulya ebirime, oba bwe nnaasindikanga kawumpuli mu bantu bange,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnaggalangawo eggulu waleme okuba enkuba, oba bwe nnaalagiranga enzige okulya ensi, oba bwe nnaaweerezanga kawumpuli mu bantu bange;