2 Chronicles 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abantu bange abo abaatuumibwa erinnya lyange bamala beetoowaza, ne banneegayirira, ne banoonya amaaso gange, ne bava mu makubo gaabwe amabi, olwo ndiyima mu ggulu ne mpulira, ndibasonyiwa ebibi byabwe, ne mponya ensi yaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetoowazanga ne basaba ne banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amabi; kale nnaawuliranga nga nnyima mu ggulu ne nsonyiwa okwonoona kwabwe ne mponya ensi yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abantu bange abo abansinza bwe baneetoowazanga ne beegayirira, ne bakyukira gye ndi, ne bava mu mpisa zaabwe embi, mu ggulu gye mbeera nnaawuliranga, ne mbasonyiwa ebibi byabwe, ne mponya ensi yaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetoowazanga ne basaba ne banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amabi; kale naawuliranga nga nnyima mu ggulu ne nsonyiwa okwonoona kwabwe ne mponya ensi yaabwe.