2 Chronicles 7:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nnonze ne neetukuliza ekifo kino erinnya lyange we liba libeera emirembe gyonna; amaaso gange n'omutima gwange biribeera awo bulijjo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnonze era neewongedde yeekaalu eno, Erinnya lyange libeerenga omwo ennaku zonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo ekiseera kyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kaakano nneerobozezza ennyumba eno ne ngitukuza, erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna: n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga ku yo ebbanga lyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga kaakano Essinzizo lino nditukuzizza, bansinzizengamu ennaku zonna. Era nnaalikuumanga ne ndirabirira ebbanga lyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kaakano nneerobozezza ennyumba eno ne ngitukuza, erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna: n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga eyo obutayosa.