2 Chronicles 7:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naawe bw'oliba otambulidde mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yakola, n'okola byonna bye nkulagira, n'okwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yakola, n’okola bye nkulagira byonna, n’okuuma ebiragiro byange n’amateeka gange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe, bw'onootambuliranga mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga, n'okola nga byonna bwe biri bye nnakulagira, n'okwata amateeka gange n'ebiragiro byange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naawe bw'onompeerezanga n'obwesigwa nga kitaawo Dawudi bwe yakola, n'ogondera amateeka gange, era n'otuukiriza byonna bye nnaakulagiranga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, bw'onootambuliranga mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga, n'okola nga byonna bwe biri bye nnakulagira, n'okwata amateeka gange n'emisango gyange;