2 Chronicles 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nnamulondo y'obwakabaka bwo nzija kugitebenkeza ku Yisirayeli, nga bwe nalagaanya Dawudi kitaawo nti: ‘Tolibulwa musajja alituula ku nnamulondo ya Yisirayeli.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwo, nga bwe nalagaana ne Dawudi kitaawo bwe nayogera nti, ‘Tolirema kuba na musika alifuga Isirayiri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo nga bwe nnalagaana ne Dawudi kitaawo nga njogera nti, ‘Tewaabulenga musajja okuva muzzadde lyo afuga Isiraeri.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ndinyweza obwakabaka bwo nga bwe nalagaanya kitaawo Dawudi, nga mmugamba nti mu zzadde lye taabulwengamu afuga Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo nga bwe nnalagaana ne Dawudi kitaawo nga njogera nti Tewaakubulenga musajja okuba afuga mu Isiraeri.