2 Chronicles 7:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe bwe mulikuba amabega, ne mwabulira amateeka gange n'ebiragiro byange bye mbateereddewo, ne mumala mugenda ne muweereza balubaale, ne mubasinza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye bwe munaakyuka ne muva ku mateeka gange n’ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe munaakyukanga ne muleka amateeka gange n'ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mu basinza:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe mulinvaako, ne mujeemera amateeka gange n'ebiragiro bye mbawadde, ne muweereza balubaale, era ne mubasinza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe munaakyukanga ne muleka amateeka gange n'ebiragiro byange bye ntadde mu maaso gammwe, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza: