2 Chronicles 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona nga tebakyasobola kuyingira Kiggwa kya Mukama, kubanga ekitiibwa ky'Omukama kyali kikijjuzizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona ne batayinza kuyingira mu yeekaalu ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula eyeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona ne batayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kijjudde mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona ne batayinza kuyingira mu Ssinzizo, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kijjuddemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona ne batayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kijjudde ennyumba ya Mukama.