2 Chronicles 7:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli ŋŋenda kumusimbula mu nsi gye nabawa, n'ekiggwa kye natukuliza erinnya lyange ndikikasuka kinve mu maaso. Ekiggwa ŋŋenda kukifuula lufumo, kifuuke eky'okusekerera mu mawanga gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ndisiguukulula Isirayiri okuva mu nsi yange, gye mbawadde, era sirifaayo na ku yeekaalu eno gye neewongera olw’Erinnya lyange. Ndigifuula ekisekererwa era ekinyoomebwa mu mawanga gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo ndibasigulira ddala ne mbaggya mu nsi yange gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'Erinnya lyange ndigisaanyaawo, era ndigifuula olufumo n'ekisekererwa mu mawanga gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olwo ndibaggya mu nsi yange gye nabawa mmwe, era ndyabulira Essinzizo lino lye ntukuzizza bansinzizengamu. Ndirifuula eky'okufumwako enfumo n'ekisekererwa mu mawanga gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo ndibasigulira ddala ne mbaggya mu nsi yange gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigisuula okuva mu maaso gange, era ndigifuula olugero n'ekigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna.