2 Chronicles 7:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde Ekiggwa kino kya kitiibwa, buli yenna aliba ayise wano kirimuwuniikiriza n'abuuza nti: ‘Lwaki Omukama yakola ati ensi eno n'Ekiggwa?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikiridde nnyo, abaliyitawo bonna balyewuunya, nga boogera nti, ‘Lwaki Mukama akoze ekifaanana bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ennyumba eno ey'ekitiibwa ennyo, buli anaagiyitangako aneewuunyanga era anaayogeranga nti,‘ Kiki ekikozezza bwe kityo Mukama ensi eno n'ennyumba eno?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Essinzizo lino kaakano lyakitiibwa nnyo, naye buli anaayitangawo, aneewuunyanga nti: ‘Lwaki Mukama yakola bw'atyo ensi eno n'Essinzizo lino?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ennyumba eno empanvu eyenkanidde awo buli anaagiyitangako aneewuunyanga era anaayogeranga nti Kiki ekikozezza bwe kityo Mukama ensi eno n'ennyumba eno?