2 Chronicles 7:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balimwanukula nti: ‘Kubanga baaleka Omukama Katonda wa bajjajjaabwe eyaggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera balubaale, ne babasinza, ne babaweereza, kyeyava abaleetera akabi kano konna.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, nga babasinza era nga babaweereza, kyavudde abaleetako emitawaana gino gyonna, ginnamuzisa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale banaddangamu nti, ‘Kubanga baaleka Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza: kyeyava abatuusako obubi buno bwonna.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu banaddangamu nti: ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu nsi ye Misiri, ne beewa balubaale ne babasinza, era ne babaweereza, Mukama kyeyava abatuusaako akabi akenkanidde awo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale banaddangamu nti Kubanga baaleka Mukama Katonda wa bajjajja baabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bakwata bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza: kyeyava abaleetako obubi buno bwonna.