2 Chronicles 7:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, n'ekitiibwa ky'Omukama ku Kiggwa, ne bagwa nga beevuunise ku ttaka ku mwaliiro ogw'amayinja, ne basinza, ne batendereza Omukama nga bagamba nti: “Mulungi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, n’ekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ng’amaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti, “Mulungi, era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Isiraeri bonna bwe balaba omuliro nga gukka, n'ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde mu Yeekaalu, ne bavuunama ku mayinja amaaliire, ne basinza, ne beebaza Mukama nga boogera nti, “mulungi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna bwe baalaba omuliro, n'ekitiibwa kya Mukama nga bikka ku Ssinzizo, ne bavuunama ku mayinja amaaliire nga basinza Katonda, era nga bamwebaza kubanga mulungi, n'ekisa kye kya mirembe gyonna. 106:1; 107:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri bonna ne batunuulira, omuliro bwe gwaka, ekitiibwa kya Mukama ne kiba ku nnyumba; ne bavuunama amaaso gaabwe ku mayinja amaaliire, ne basinza, ne beebaza Mukama nga boogera nti Kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.